Add parallel Print Page Options

(A)Wulira, Ayi Isirayiri. Osemberedde olunaku lw’ojja okusomokerako omugga Yoludaani, oyingire mu nsi omuli amawanga agakusinga obunene, ogyetwalire ogyefunire. Olisangamu ebibuga ebinene ebyebulunguddwa ebigo ebyawanvuwa okutuuka ku ggulu. (B)Abantu baayo be batabani ba Anaki, ba maanyi era bawanvu. Obamanyi bulungi, era wawulirako dda nga boogerwako nti, “Ani ayinza okwolekera Abanaki?” (C)Naye kitegeere leero nga Mukama Katonda wo y’akukulembera buli gy’oba olaga yonna, era ng’ali ng’omuliro ogusaanyaawo buli kintu. Ab’amaanyi abo agenda kubasiguukulula abazikirize nga naawe olaba. Noolwekyo ogenda kubagobamu obamalirewo ddala mu kaseera katono, nga Mukama bw’akusuubizza.

(D)Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go. (E)Ojja kuyingira mu nsi yaabwe ogitwale, si lwa kubanga oli mutuukirivu, oba omwesigwa; wabula lwa kibi ky’amawanga ago Mukama Katonda wo kyanaava agagoba mu maaso go, atuukirize n’ekisuubizo kye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. (F)Osaana okitegeere ng’ensi eno ennungi Mukama Katonda gy’akuwa okugyefunira tagikuwa lwa kubanga oli mutuukirivu; kubanga oli muntu alina ensingo enkakanyavu.

Ennyana eya Zaabu

Ojjukiranga, era tosaana kwerabiranga, nga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo ng’oli mu ddungu. Okuviira ddala ku lunaku lwe wava mu nsi ey’e Misiri mubadde mujeemera Mukama n’okutuusa lwe mutuuse mu kifo kino. (G)Ku lusozi Kolebu mwanyiiza Mukama Katonda, obusungu bwe ne bubuubuuka nnyo n’okwagala n’ayagala okubazikiriza. (H)Bwe nalinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby’amayinja, nga bye byaliko endagaano Mukama Katonda gye yali alagaanye nammwe, ne mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, saalya ku mmere wadde okunywa ku mazzi. 10 (I)Mukama Katonda n’ampa ebipande bibiri eby’amayinja nga biwandiikiddwako n’engalo ya Katonda. Ku byo kwali kuwandiikiddwako amateeka Mukama ge yali abalangiridde ng’ali ku lusozi wakati mu muliro ku lunaku olwo nga mwenna mukuŋŋaanye.

11 Ku nkomerero y’ennaku amakumi ana n’ebiro amakumi ana Mukama Katonda n’ampa ebipande ebibiri eby’amayinja nga bye bipande eby’endagaano. 12 (J)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Situka ove mangu wano oserengete, kubanga abantu bo be waggya mu Misiri boonoonye. Beekyusizza mangu ne bava mu kkubo lye nabalagira okutambulirangamu, ne beekolera ekibumbe ekisaanuuse ekitali Katonda.”

13 (K)Era Mukama Katonda ne yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Neetegerezza abantu bano, ne ndaba nga bantu abalina ensingo enkakanyavu, nga ggwanga lya mputtu. 14 (L)Leka mbazikirize, erinnya ly’eggwanga lyabwe ndisangulewo wansi w’eggulu. Ndikuggyamu eggwanga eddene era ery’amaanyi okusinga eggwanga lyabwe.”

15 (M)Bwe ntyo ne nkyuka ne nva ku lusozi ne nserengeta, ne ndeka ng’olusozi lwaka omuliro. Ebipande byombi eby’amateeka eby’endagaano nabirina mu mikono gyange gyombi. 16 (N)Bwe natunula ne ndaba nga mwonoonye mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; mwali mwekoledde ekitali Katonda nga mukibumbye okufaanana ng’ennyana; mwali mukyuse mangu okuva mu kkubo Mukama lye yali abalagidde. 17 Bwe ntyo ne nzirira ebipande byombi bye nnali nkutte mu ngalo zange ne mbikasuka wansi ne byatikirayatikira mu maaso gammwe nga nammwe mulaba.

18 (O)Ate ne nziramu okweyala wansi awali Mukama Katonda nga bwe nakola olubereberye ku Lusozi Sinaayi, Mukama bwe yali amaliridde okubazikiririza ddala yeefunire eggwanga eddala; ne sirya ku mmere wadde okunywa ku tuzzi okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro, olw’ekibi kye mwali mukoze, bwe mwakola ebitasaana mu maaso ga Mukama Katonda ne mumusunguwaza. 19 (P)Ne ntya nnyo olw’obusungu bwa Mukama Katonda n’ekiruyi kye, kubanga yali abasunguwalidde nnyo ng’ayinza n’okubazikiriza. Naye era Mukama n’ampuliriza ne ku mulundi ogwo. 20 Era Mukama yali asunguwalidde nnyo Alooni nga n’okumuzikiriza ayinza okumuzikiriza. Naye mu kiseera ekyo ne Alooni ne mmusabira nnyo. 21 (Q)Ne nzirira ennyana eyabaleetera okusobya, ne ngyokya mu muliro. Ne ngisekulasekula ne ngisa, n’efuuka olufufugge. Olufufugge olwo ne nduyiwa mu kagga akaali kakulukutira ku lusozi olunene.

22 (R)Mukama, mwayongera okumusunguwaza bwe mwali e Tabera, n’e Masa, n’e Kiberosu Kataava.

23 (S)Era Mukama bwe yabasindika okuva e Kadesubanea, yabagamba nti, “Mwambuke mwetwalire ensi gye mbawadde.” Naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe. Temwamwesiga wadde okumugondera. 24 (T)Kasookedde mbamanya, ebbanga eryo lyonna mubadde mujeemera Mukama Katonda.

Musa Yeegayirira Mukama ku lwa Isirayiri

25 (U)Bwe ntyo ne nambaala ku ttaka nga neevuunise mu maaso ga Mukama, okumala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro; kubanga Mukama Katonda yali agambye nti ajja kubazikiriza. 26 (V)Ne nsaba Mukama nti, Ayi Mukama Katonda, bano be bantu bo, era obusika bwo bwennyini, be wanunula n’obaggya mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi. 27 Nkusaba ojjukire abaddu bo, era abaweereza bo, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo osonyiwe obukakanyavu bw’eggwanga lino, n’obunafu bwalyo n’ebibi byalyo. 28 (W)Ab’omu nsi mwe watuggya baleme okugamba nti, “Olwokubanga Mukama yali tasobola kubatuusa mu nsi gye yabasuubiza, era olwokubanga yali abakyaye nnyo, kyeyava abaggyayo mu Misiri alyoke abattire mu ddungu.” 29 (X)Kubanga lino lye ggwanga lyo, be bantu bo ab’obusika bwo, be waggya mu Misiri n’obuyinza bwo obungi, n’omukono gwo ogw’amaanyi.

Not Because of Israel’s Righteousness

Hear, Israel: You are now about to cross the Jordan(A) to go in and dispossess nations greater and stronger than you,(B) with large cities(C) that have walls up to the sky.(D) The people are strong and tall—Anakites! You know about them and have heard it said: “Who can stand up against the Anakites?”(E) But be assured today that the Lord your God is the one who goes across ahead of you(F) like a devouring fire.(G) He will destroy them; he will subdue them before you. And you will drive them out and annihilate them quickly,(H) as the Lord has promised you.

After the Lord your God has driven them out before you, do not say to yourself,(I) “The Lord has brought me here to take possession of this land because of my righteousness.” No, it is on account of the wickedness(J) of these nations(K) that the Lord is going to drive them out before you. It is not because of your righteousness or your integrity(L) that you are going in to take possession of their land; but on account of the wickedness(M) of these nations,(N) the Lord your God will drive them out(O) before you, to accomplish what he swore(P) to your fathers, to Abraham, Isaac and Jacob.(Q) Understand, then, that it is not because of your righteousness that the Lord your God is giving you this good land to possess, for you are a stiff-necked people.(R)

The Golden Calf

Remember this and never forget how you aroused the anger(S) of the Lord your God in the wilderness. From the day you left Egypt until you arrived here, you have been rebellious(T) against the Lord.(U) At Horeb you aroused the Lord’s wrath(V) so that he was angry enough to destroy you.(W) When I went up on the mountain to receive the tablets of stone, the tablets of the covenant(X) that the Lord had made with you, I stayed on the mountain forty days(Y) and forty nights; I ate no bread and drank no water.(Z) 10 The Lord gave me two stone tablets inscribed by the finger of God.(AA) On them were all the commandments the Lord proclaimed to you on the mountain out of the fire, on the day of the assembly.(AB)

11 At the end of the forty days and forty nights,(AC) the Lord gave me the two stone tablets,(AD) the tablets of the covenant. 12 Then the Lord told me, “Go down from here at once, because your people whom you brought out of Egypt have become corrupt.(AE) They have turned away quickly(AF) from what I commanded them and have made an idol for themselves.”

13 And the Lord said to me, “I have seen this people(AG), and they are a stiff-necked people indeed! 14 Let me alone,(AH) so that I may destroy them and blot out(AI) their name from under heaven.(AJ) And I will make you into a nation stronger and more numerous than they.”

15 So I turned and went down from the mountain while it was ablaze with fire. And the two tablets of the covenant were in my hands.(AK) 16 When I looked, I saw that you had sinned against the Lord your God; you had made for yourselves an idol cast in the shape of a calf.(AL) You had turned aside quickly from the way that the Lord had commanded you. 17 So I took the two tablets and threw them out of my hands, breaking them to pieces before your eyes.

18 Then once again I fell(AM) prostrate before the Lord for forty days and forty nights; I ate no bread and drank no water,(AN) because of all the sin you had committed,(AO) doing what was evil in the Lord’s sight and so arousing his anger. 19 I feared the anger and wrath of the Lord, for he was angry enough with you to destroy you.(AP) But again the Lord listened to me.(AQ) 20 And the Lord was angry enough with Aaron to destroy him, but at that time I prayed for Aaron too. 21 Also I took that sinful thing of yours, the calf you had made, and burned it in the fire. Then I crushed it and ground it to powder as fine as dust(AR) and threw the dust into a stream that flowed down the mountain.(AS)

22 You also made the Lord angry(AT) at Taberah,(AU) at Massah(AV) and at Kibroth Hattaavah.(AW)

23 And when the Lord sent you out from Kadesh Barnea,(AX) he said, “Go up and take possession(AY) of the land I have given you.” But you rebelled(AZ) against the command of the Lord your God. You did not trust(BA) him or obey him. 24 You have been rebellious against the Lord ever since I have known you.(BB)

25 I lay prostrate before the Lord those forty days and forty nights(BC) because the Lord had said he would destroy you.(BD) 26 I prayed to the Lord and said, “Sovereign Lord, do not destroy your people,(BE) your own inheritance(BF) that you redeemed(BG) by your great power and brought out of Egypt with a mighty hand.(BH) 27 Remember your servants Abraham, Isaac and Jacob. Overlook the stubbornness(BI) of this people, their wickedness and their sin. 28 Otherwise, the country(BJ) from which you brought us will say, ‘Because the Lord was not able to take them into the land he had promised them, and because he hated them,(BK) he brought them out to put them to death in the wilderness.’(BL) 29 But they are your people,(BM) your inheritance(BN) that you brought out by your great power and your outstretched arm.(BO)