Add parallel Print Page Options

22 (A)Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa.

Read full chapter

28 (A)Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki.

Read full chapter

32 (A)Bwe batyo ne babunya mu baana ba Isirayiri alipoota etaali nnungi ng’efa ku nsi gye baali bagenze okuketta; nga bagamba nti, “Ensi gye twayitaayitamu nga tugiketta tesobola na kuliisa bantu baayo abagituulamu; ate n’abantu bonna be twalabamu baali ba kiwago. 33 (B)Twalabayo n’Abanefisi, abazzukulu ba Anaki abava mu Banefiri. Bwe twetunulako nga tuli ng’obwacaaka, era nabo nga bwe batulaba bwe batyo.”

Read full chapter