Add parallel Print Page Options

39 (A)Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!
    Tewali katonda mulala wabula Nze;
nzita era ne nzuukiza,
    nfumita era ne mponya;
    era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

Read full chapter

(A)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
    era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.

Read full chapter

(A)Nze Mukama, tewali mulala.
    Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
    wadde nga tonzisaako mwoyo,

Read full chapter

(A)balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda
    tewali mulala wabula nze.
Nze Mukama,
    tewali mulala.

Read full chapter

14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
    n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
    babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
    nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
    ‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

Read full chapter

18 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
    Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
    Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.

Read full chapter

21 (A)Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.
    Muteese muyambagane.
Ani eyayogera nti kino kiribaawo?
    Ani eyakyogerako edda?
Si nze Mukama?
    Tewali Katonda mulala wabula nze,
Katonda omutuukirivu era Omulokozi,
    tewali mulala wabula nze.

Read full chapter

31 Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,
    abalabe baffe bakiriziganya naffe.

Read full chapter

(A)Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda
    tewali mulala wabula ggwe;
    tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

Read full chapter