Add parallel Print Page Options

25 (A)Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
    ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
    abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.

Read full chapter

18 (A)Bwe ŋŋenda mu byalo
    ndaba abafumitiddwa n’ekitala!
Bwe ŋŋenda mu kibuga
    ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.
Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga
    kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”

Read full chapter

20 (A)“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!
    Ndi mu kubonaabona,
n’omutima gwange teguteredde
    kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.
Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,
    ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.

Read full chapter

12 (A)Kimu kya kusatu ku bantu bo balifa kawumpuli oba bazikirire olw’ekyeya nga bali mu ggwe. Kimu kya kusatu ekirala kirittibwa ekitala ebweru wa bbugwe, ne kimu kya kusatu ekirala ndikisaasaanya eri empewo ne mbagoba n’ekitala ekisowole.

Read full chapter