Add parallel Print Page Options

(A)Ennaku ez’obusibe bwo bwe ziriggwaako, oyokere kimu kya kusatu ku nviiri ezo mu kibuga. Ekimu kya kusatu ekirala okisaasaanye mu mpewo. Ndibagobesa ekitala.

Read full chapter

17 (A)Ndibaleetera ekyeya n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne zibaleka nga temulina baana. Kawumpuli n’okuyiwa omusaayi biribatuukako, ne mbaleetako ekitala. Nze Mukama nkyogedde.”

Read full chapter

(A)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

Read full chapter

(A)Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe.

Read full chapter

11 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kuba mu ngalo zo, osambagale era okaabire waggulu oyogere nti, “Woowe”; olw’ebikolwa byonna ebitali bya butuukirivu n’ebintu byonna eby’ekkive eby’ennyumba ya Isirayiri; abamu baligwa n’ekitala, abalala balifa enjala, n’abalala balifa kawumpuli. 12 (B)Ali ewala alifa kawumpuli, n’oyo ali okumpi aligwa n’ekitala, n’oyo alisigalawo alifa enjala. Bwe ntyo bwe ndiraga obusungu bwange.

Read full chapter

14 (A)Ndisaasaanyiza eri empewo zonna, bonna abamwetoolodde, abakozi be n’eggye lye lyonna era ndibawondera n’ekitala ekisowoddwa.

Read full chapter