Add parallel Print Page Options

10 (A)Kale nno abantu ab’omu mawanga gonna ag’ensi balitegeera nga bw’oyitibwa erinnya lya Mukama era banaakutyanga.

Read full chapter

23 (A)Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri?

Read full chapter

14 (A)abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.

Read full chapter

10 (A)Waweereza obubonero obwewuunyisa n’ebyamagero eri Falaawo, n’eri abakungu be, n’eri abantu be bonna ab’ensi ye, kubanga wamanya engeri Abayisirayiri gye baajoogebwamu. Weekolera erinnya eryayatiikirira, n’okutuusa leero.

Read full chapter

29 (A)Laba, ntandika okuzikiriza ekibuga ekiyitibwa Erinnya lyange, ddala munaagenda nga temubonerezeddwa? Mujja kubonerezebwa kubanga nkoowoola ekitala kikke ku abo bonna abali ku nsi, bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.’

Read full chapter