Add parallel Print Page Options

29 “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo. 30 (A)Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa. 31 (B)Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be. 32 (C)Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe. 33 Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe. 34 (D)Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”

Read full chapter

13 (A)Onoddira amasavu gonna ag’oku byenda n’ogabikka ku kibumba n’ensigo zombi n’amasavu gaazo, obyokere ku kyoto.

Read full chapter

Ekyoto eky’Ebiweebwayo Ebyokebwa

38 (A)“Bino by’onoowangayo ku kyoto buli lunaku: onoowangayo endiga ento bbiri ez’omwaka ogumu. 39 (B)Endiga emu onoogiwangayo mu makya, ne ginnaayo n’ogiwaayo akawungeezi. 40 Endiga esooka onoogiwaayo ne lita bbiri ez’obuwunga obulungi, nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni, n’oteekerako ne lita emu ey’envinnyo nga ky’ekiweebwayo ekyokunywa. 41 Endiga eyookubiri onoogiwaayo akawungeezi awamu n’obuwunga n’ebyokunywa nga bw’onooba okoze mu makya, ne biryoka bivaamu akawoowo akalungi akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.

42 (C)“Mu mirembe gyonna egigenda okujja, ekiweebwayo kino ekyokebwa kinaaweebwangayo eri Mukama obutayosa, mu mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Awo we nnaakusanga ne njogera naawe.

Read full chapter