Add parallel Print Page Options

(A)Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe.

Read full chapter

Abavubuka basekerera Erisa

23 (A)Erisa bwe yava eyo n’akwata ekkubo erigenda e Beseri. Naye ng’ali mu kkubo, n’asisinkana abavubuka ab’omu kibuga ekyo ne bamusekerera nga bwe boogera nti, “Mulabe ow’ekiwalaata! Mulabe ow’ekiwalaata!”

Read full chapter

24 (A)Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,
    awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,
n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,
    mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,
    n’awaali obulungi waddewo obulambe.

Read full chapter

(A)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
    okukaabira mu ssabo lyabwe.
    Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
    na buli kirevu kyonna kimwereddwa.

Read full chapter

12 (A)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.

Read full chapter

31 (A)Balikumwera emitwe gyabwe,
    era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
    nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.

Read full chapter

18 (A)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo.

Read full chapter

10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

Read full chapter

16 (A)Mukungubage, n’emitwe mugimwe
    olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
    kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.

Read full chapter