Add parallel Print Page Options

12 (A)Awo oluwalo lwa buli muwala bwe lwatuukanga okugenda eri Kabaka Akaswero, omuwala oyo yalinanga okuba ng’amaze emyezi kkumi n’ebiri egy’okufumbirirwa, ng’era mu bbanga eryo, emyezi omukaaga aba ng’akozesa amafuta ag’omugavu n’emyezi omukaaga omulala nga yeyambisa obuwoowo n’ebintu ebirala ebifumbirira.

Read full chapter

24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
    n’aguza abasuubuzi enkoba.

Read full chapter

12 (A)Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
    yalangirira okukaaba n’okukuba ebiwoobe,
n’okwemwako enviiri
    n’okwambala ebibukutu.

Read full chapter

10 (A)Abakadde b’Omuwala wa Sayuuni
    batuula wansi ku ttaka nga basiriikiridde;
bayiye enfuufu ku mitwe gyabwe
    era beesibye ebibukutu;
n’abawala ba Yerusaalemi
    bakotese emitwe gyabwe.

Read full chapter

30 (A)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
    ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
    ne beevulunga mu vvu.
31 (B)Balikumwera emitwe gyabwe,
    era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
    nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.

Read full chapter

(A)Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egy’amajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egy’ebyambalo.

Read full chapter