Add parallel Print Page Options

21 (A)“ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.

Read full chapter

(A)N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.

Read full chapter

(A)Temusaana kweyisanga mu bikolwa byammwe ng’ab’omu Misiri, gye mwabeeranga, bwe beeyisa, era temusaana kweyisanga ng’ab’omu Kanani, gye mbatwala, bwe beeyisa. Temutambuliranga mu mateeka gaabwe.

Read full chapter

(A)Mukama Katonda wo bw’alimala okugobamu amawanga ago gonna nga naawe olaba, teweewaananga nga weeyogerako nti, “Mukama ansobozesezza okuyingira mu nsi muno n’okugifuna olw’obutuukirivu bwange;” songa lwa butali butuukirivu bwa mawanga ago, Mukama kyanaava agagobamu mu maaso go.

Read full chapter

31 (A)Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

Read full chapter