Add parallel Print Page Options

31 (A)Mukama Katonda wo tomusinzanga mu ngeri efaanana ng’eya bali, kubanga mu kusinza bakatonda baabwe bakoleramu ebikolobero bingi Mukama by’atayagala, by’akyawa. Bayokya ne batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro nga ssaddaaka eri bakatonda baabwe.

Read full chapter

“Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja. (A)Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu. (B)Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.

Read full chapter

12 (A)“Tokozesanga linnya lyange ng’olayira ebitaliimu nsa, n’ovumisa erinnya lya Katonda wo. Nze Mukama.

Read full chapter

(A)Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu.

Read full chapter

20 (A)Buli gye baagendanga mu mawanga baaswazanga erinnya lyange ettukuvu, kubanga kyayogerwanga nti, ‘Bano bantu ba Mukama, naye baagobebwa mu nsi ye.’

Read full chapter