Add parallel Print Page Options

10 Kabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde,

Read full chapter

19 (A)kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona.

Read full chapter

28 (A)Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro.

Read full chapter

43 Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri,

Read full chapter

(A)Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu.

Read full chapter

38 “Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’obutulututtu obweru ku mubiri gwe, 39 kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu.

Read full chapter

56 (A)oba okubutukabutuka, oba obutulututtu,

Read full chapter

(A)Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge[a] bumuwonyeeko,

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:3 ebigenge Mu Lwebbulaniya, kiyinza okutegeeza n’endwadde endala ez’olususu

Ku lunaku olw’omusanvu omuntu oyo anaayongeranga okumwa ku mutwe gwe enviiri ze zonna, anaamwangako n’ebirevu bye, n’ebisige bye, n’obwoya obulala bwonna obumwebwa. Ate anaayozanga engoye ze, n’anaaba omubiri gwe gwonna mu mazzi, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.

Read full chapter

15 Kabona anaddiranga ku mafuta ag’omuzeeyituuni ag’omu pakuli n’agafukako mu kibatu ky’omukono gwe ogwa kkono,

Read full chapter

(A)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.

Read full chapter

(A)Kabona anaafulumanga n’agenda ebweru w’olusiisira n’akebera omuntu oyo. Awo bw’anaasanganga ng’obulwadde bw’ebigenge[a] bumuwonyeeko,

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:3 ebigenge Mu Lwebbulaniya, kiyinza okutegeeza n’endwadde endala ez’olususu

32 (A)Ago ge mateeka aganaagobererwanga omuntu omugenge anaabanga tasobola biweebwayo ebya bulijjo, alyoke afuuke omulongoofu.”

Read full chapter

(A)“Lagira abaana ba Isirayiri buli mugenge bamufulumye ebweru w’olusiisira, na buli alina ekikulukuto ky’omusaayi, n’oyo anaabanga akutte ku mufu.

Read full chapter

(A)Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde.

Read full chapter

(A)Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde.

Read full chapter