Add parallel Print Page Options

12 (A)Ne balyoka baleeta ebirabo, ebintu eby’ekimu eky’ekkumi, n’ebintu ebyatukuzibwa. Konaniya Omuleevi ye yavunaanyizibwanga ebintu ebyo, ate nga Simeeyi muganda we ye mumyuka we. 13 (B)Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, Yozabadi, ne Eryeri, ne Isumakiya, ne Makasi ne Benaya be baabayambangako. Konaniya ne Simeeyi muganda we, baalondebwa Kabaka Keezeekiya ne Azaliya omukungu omukulu eyavunaanyizibwanga yeekaalu ya Katonda.

14 Kole mutabani wa Imuna Omuleevi, omuggazi w’omulyango ogw’ebuvanjuba, ye yavunaanyizibwanga ebyo bye baawangayo eri Katonda ku bwabwe awatali kuwalirizibwa, ng’agabanyamu ebyatonebwanga eri Mukama, n’ebirabo ebyayawulibwanga. 15 (C)Edene, ne Miniyamini, ne Yesuwa, ne Semaaya, ne Amaliya ne Sekaniya, be baamuyambangako n’obwesigwa mu bibuga bya bakabona okugabiranga bakabona bannaabwe ng’ebibinja byabwe bwe byali, abakulu n’abato.

Read full chapter

34 (A)Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.

Read full chapter

(A)“Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo. Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa.

“Amalundiro aganaaweebwanga Abaleevi ab’omu bibuga ebyo ganaapimwanga obugazi okuva ku bbugwe w’ekibuga mita ebikumi bina mu ataano. Amalundiro ago ganaapimanga obuwanvu bwa mita lwenda ku ludda olw’ebuvanjuba, ne mita lwenda ku ludda olw’ebugwanjuba, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikakkono, ne mita lwenda ku luuyi olw’obukiikaddyo, ng’ekibuga kiri wakati. Ago ge ganaabanga amalundiro gaabo ab’omu kibuga.

Read full chapter