Add parallel Print Page Options

12 (A)Awo Abaleevi ne batandika okukola era baali:

Makasi mutabani wa Amasayi,

ne Yoweeri mutabani wa Azaliya ab’omu lulyo lwa Bakokasi,

ne Kiisi mutabani wa Abudi,

ne Azaliya mutabani wa Yekalereri ab’omu lulyo lwa Merali,

ne Yowa mutabani wa Zimma,

ne Adeni mutabani wa Yowa ab’omu lulyo lwa Bagerusoni,

Read full chapter

Mu bika bya Yuda ne Simyoni mwavaamu ebibuga bino: 10 bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.

11 (A)Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde. 12 Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe. 13 (B)Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo, 14 (C)ne Yattiri n’amalundiro gaakyo ne Esutemoa n’amalundiro gaakyo, 15 (D)ne Kaloni n’amalundiro gaakyo ne Debiri n’amalundiro gaakyo, 16 (E)ne Ayini n’amalundiro gaakyo ne Yuta n’amalundiro gaakyo ebibuga mwenda mu bika ebibiri.

17 (F)Ne mu kika kya Benyamini ne baweebwa Gibyoni, ne Geba 18 ne Anasosi n’amalundiro gaakyo, ne Alumoni n’amalundiro gaakyo ne Alumoni n’amalundiro gaakyo bye bibuga bina.

19 Ebibuga byonna eby’abaana ba Alooni bakabona byali ebibuga kkumi na bisatu n’amalundiro gaabyo.

Read full chapter