Add parallel Print Page Options

Akazi Kabaka wa Yuda

16 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi[a] mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. (B)Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yatandikira okufuga, era n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. N’akola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda we, obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi. (C)N’atambulira mu ngeri za bassekabaka ba Isirayiri, era n’okuwaayo n’awaayo mutabani we ng’ekiweebwayo, ng’agoberera eby’emizizo eby’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri. (D)N’awangayo ssaddaaka, era n’ayoterezanga n’obubaane ku bifo ebigulumivu, ku nsozi waggulu, ne wansi wa buli muti.

(E)Lezini kabaka wa Busuuli ne Peka, mutabani wa Lemaliya kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulumba Yerusaalemi ne bazingiza Akazi, naye ne batayinza kumuwangula. (F)Mu kiseera kye kimu, Lezini kabaka wa Busuuli n’agoba abasajja ba Yuda okuva mu Erasi n’akiddiza Abasuuli, era gye babeera ne leero.

(G)Awo Akazi n’atuma ababaka eri Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, okumugamba nti, “Ndi muddu wo era mutabani wo, nkwegayiridde jjangu ondokole okuva mu mukono gwa kabaka wa Busuuli; n’okuva mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri abannumbye[b].” (H)Akazi n’aggya effeeza ne zaabu ebyabeeranga mu yeekaalu ya Mukama, ne mu mawanika ag’omu lubiri lwa kabaka, n’agiweereza ng’ekirabo eri kabaka w’e Bwasuli. (I)Awo kabaka w’e Bwasuli n’awulira okwegayirira kwe, n’alumba Ddamasiko, n’akiwamba, n’abantu abaabeerangamu n’abaweereza mu buwaŋŋanguse e Kiri, era n’okutta n’atta Lezini.

10 (J)Awo kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasupireseri kabaka w’e Bwasuli, era eyo n’alabayo ekyoto ekyali mu Ddamasiko. Amangwago kabaka Akazi n’aweereza Uliya kabona ekifaananyi ky’ekyoto ekyo, n’engeri gye kiteekwa okuzimbibwa. 11 Awo Uliya kabona n’azimba ekyoto, ng’ebiragiro bya kabaka Akazi bye yaweereza okuva e Ddamasiko bwe byali, era n’agimaliriza nga kabaka Akazi tannava Ddamasiko. 12 (K)Kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko, n’alaba ekyoto, n’akisemberera era ku kyo n’aweerako ssaddaaka. 13 (L)N’aweerayo ssaddaaka ey’ekyokebwa ne ssaddaaka ey’obutta n’ayiwako ne ssaddaaka ey’ekyokunywa, era n’amansirako omusaayi ogw’ebiweebwayo olw’emirembe ku kyoto. 14 (M)N’aggyawo ekyoto eky’ekikomo ekyabeeranga mu maaso ga Mukama mu yeekaalu wakati w’ekyoto kye ne yeekaalu ya Mukama, n’akiteeka ku luuyi olw’obukiikaddyo obw’ekyoto kye.

15 (N)Awo kabaka Akazi n’alagira Uliya kabona nti, “Ku kyoto ekinene, weerayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’enkya n’ekiweebwayo eky’obutta eky’akawungeezi, eky’okuwaayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekyokuwaayo kye eky’obutta, n’ekyokuwaayo ekyokebwa eky’abantu ab’omu nsi, n’ekiweebwayo kyabwe eky’obutta, n’ekiweebwayo kyabwe ekyokunywa. Omansire ku kyoto omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa, n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka. Wabula ekyoto eky’ekikomo kinaabeeranga kyange nga kya kwebuuzaako.” 16 Uliya kabona n’akola byonna, nga kabaka Akazi bwe yamulagira.

17 (O)Kabaka Akazi n’atemako emigo gye biyimirirwako, ne bensani n’aziggya kwe zaabeeranga, ate n’aggya n’ennyanja okuva ku nte ennume ez’ekikomo, eza giwaniriranga, n’agiteeka ku mayinja amaliire. 18 (P)N’aggyawo n’ekyabikkanga ku kkubo erya ssabbiiti eryali lizimbiddwa okumpi ne yeekaalu, ate era n’aggyawo n’ekkubo erya kabaka ery’ebweru wa yeekaalu ya Mukama, olwa kabaka w’e Bwasuli.

19 Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu bufuzi Akazi, ne bye yakola, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Yuda? 20 Awo Akazi n’afa n’aziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi. Keezeekiya mutabani we n’amusikira okuba kabaka.

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:1 Akazi yafugira wamu ne kitaawe Yosamu mu 735 bc.
  2. 16:7 Ekikolwa ekyo ekya Akazi kyaleetera Yerusaalemi okuggyibwako obwetwaze bwakyo

Akazi Kabaka wa Yuda

28 (A)Akazi yali wa myaka amakumi abiri we yaliira obwakabaka, n’afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi. Naye obutafaanana nga jjajjaawe Dawudi, yakola ebitali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama.

Read full chapter

Akabonero Akategeeza Okujja kwa Emmanweri

(A)Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 7:1 Mu mwaka 735 bc, Isirayiri ne Busuuli batta omukago balwanyise Bwasuli, ne bagezaako okusendasenda Akazi kabaka wa Yuda abeegatteko

Keezeekiya Kabaka wa Yuda

18 (A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya mutabani wa Akazi kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga. (B)Yali wa myaka amakumi abiri mu etaano, we yatandikira okufuga, n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi, n’erinnya lya nnyina ye yali Abi muwala wa Zekkaliya. (C)N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola. (D)N’aggyawo ebifo ebigulumivu n’amenyaamenya amayinja amoole, n’atema n’empagi eza Baasera. N’amenyaamenya omusota ogw’ekikomo Musa gwe yakola, kubanga ne mu biro ebyo Abayisirayiri baagwoterezangako obubaane.

(E)Keezeekiya yeesiga Mukama, Katonda wa Isirayiri, ne wataba n’omu eyamwenkana ku bakabaka bonna aba Yuda mu abo abaamusooka ne mu abo abamuddirira. (F)N’anywerera ku Mukama, n’ataleka kumugoberera, era n’akuuma n’amateeka Mukama ge yawa Musa. (G)Mukama n’abeera wamu naye, era n’abeera n’omukisa mu buli kye yakolanga. N’agyemera kabaka w’e Bwasuli, n’agaana okumuweereza. (H)N’awangula Abafirisuuti, mu buli kigo na buli kibuga ekyaliko bbugwe, okuva e Gaza n’okutuuka ku nsalo zaakyo.

(I)Mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya mutabani wa Era, kabaka wa Isirayiri, Salumaneseri kabaka w’e Bwasuli n’alumba Samaliya n’akizingiza. 10 Bwe wayitawo emyaka esatu, mu mwaka ogw’omukaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ate nga gwe mwaka ogw’omwenda ogwa Koseya kabaka wa Isirayiri, Samaliya ne kiwambibwa. 11 (J)Kabaka w’e Bwasuli n’atwala Abayisirayiri e Bwasuli mu buwaŋŋanguse, n’abateeka mu Kala, ne mu Kaboli ku mugga gw’e Gozani ne mu bibuga by’Abameedi, 12 (K)kubanga tebagondera ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, naye baasobya endagaano ye, n’ebyo byonna Musa omuddu wa Katonda bye yalagira. Naye ne batabiwulirizza wadde okubigondera.

13 (L)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, n’abiwamba. 14 (M)Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu. 15 (N)Keezeekiya n’amuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama n’eyo eyali mu mawanika ag’omu lubiri.

16 Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, n’amuwa kabaka w’e Bwasuli.

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

17 (O)Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu[a] ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye. 18 (P)Awo ne bayita kabaka, naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali ssabakaaki, Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda gye bali.

19 Awo Labusake n’abagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti,

“ ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki kye weesiga? 20 Olowooza nti ebigambo obugambo, kakoddyo akalaga amaanyi n’obuvumu mu kulwana? Ani gwe weesiga, n’okujeema n’onjeemera? 21 (Q)Laba nno, weesize Misiri, olumuli olwo olwatifu, oluyinza okufumita omukono gw’omuntu ne lumuleetako ekiwundu. Bw’atyo bw’ali Falaawo, ye kabaka w’e Misiri eri abo bonna abamwesiga. 22 Ate era bw’oŋŋamba nti, “Twesize Mukama Katonda waffe,” oyo si y’omu Keezeekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, ng’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kino mu Yerusaalemi”?

23 “ ‘Kale nno, jjangu oteese ne mukama wange kabaka w’e Bwasuli, nange n’akuwa embalaasi enkumi bbiri bw’onooba ng’olina abeebagazi. 24 (R)Onooyinza otya okuwangula omu ku baserikale ba mukama wange asembayo, bw’onooba nga weesiga amagaali n’abeebagala embalaasi ab’e Misiri? 25 (S)Olowooza nti nnyinza okujja okutabaala ekifo kino n’okukizikiriza awatali kigambo kya Mukama? Mukama yennyini yaŋŋambye nyambuke nzikirize ensi eno.’ ”

26 (T)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, Sebuna ne Yowa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera eri abaddu bo mu lulimi Olusuuli, kubanga tulutegeera. Toyogera naffe mu lulimi olw’Abayudaaya ng’abantu bonna abali ku bbugwe bawuliriza.”

27 Naye Labusake n’abaddamu nti, “Mulowooza nti mukama wange yantuma eri mukama wammwe n’eri mmwe okwogera ebigambo bino, so si eri abasajja abatudde ku bbugwe, abali mu kabi nammwe kubanga okufaanana nga mmwe bagenda kulya empitambi yaabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”

28 Awo Labusake n’ayimirira n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ekigambo kya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli! 29 (U)Bw’ati bw’ayogera kabaka nti, ‘Keezeekiya tabalimbanga, kubanga taliyinza kubalokola mu mukono gwange. 30 Temuganya Keezeekiya kubasendasenda mwesige Mukama ng’agamba nti, Mukama alibalokola, era n’ekibuga kino tekiriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’

31 (V)“Temuwuliriza Keezeekiya. Bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mujje gye ndi, buli omu ku mmwe anywe okuva mu muzabbibu ggwe, buli muntu ku mutiini gwe, na buli muntu anywe amazzi ag’omu kidiba kye ye;[b] 32 (W)okutuusa lwe ndijja ne mbatwala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano n’omwenge omusu, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu, ensi ey’amafuta aga zeyituuni n’omubisi gw’enjuki, mube balamu muleme okufa.’

“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga abawabya bw’agamba nti, ‘Mukama alibalokola.’ 33 (X)Waliwo katonda n’omu owa baamawanga eyali alokodde ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 34 (Y)Bali ludda wa bakatonda b’e Kamasi n’ab’e Alupadi? Bali ludda wa bakatonda b’e Sefavayimu, ab’e Kena n’ab’e Yiva? Baali balokodde Samaliya mu mukono gwange? 35 (Z)Ani ku bakatonda abo bonna ab’ensi ezo eyali alokodde ensi ye mu mukono gwange, mulyoke mulowooze nti Mukama alirokola Yerusaalemi mu mukono gwange?”

36 Naye abantu ne basirika ne bataddamu kigambo na kimu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”

37 (AA)Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamutegeeza ebigambo Labusake bye yali ayogedde.

Okulokolebwa Kwa Yerusaalemi Kutegeezebwa

19 (AB)Kabaka Keezeekiya olwawulira ebyo byonna, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayambala ebibukutu, n’alaga mu yeekaalu ya Mukama. (AC)N’atuma Eriyakimu eyali ssabakaaki, ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona ab’oku ntikko, nga bonna bambadde ebibukutu, okugenda eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi. Ne bamugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Keezeekiya nti Leero lunaku lwa buyinike, era lwa kunenyezebwa, era lwa kuswazibwa, ng’abaana bwe batuuka okuzaalibwa, naye ne wataba maanyi ga ku bazaala. (AD)Kiyinzika okuba nga Mukama Katonda wo yawulidde obubaka bwonna obwa Labusake, mukama we kabaka w’e Bwasuli bwe yaweereza ng’anyooma Katonda omulamu, era nti amunenye olw’ebigambo byonna Mukama Katonda wo by’awulidde. Noolwekyo ssabira ekitundu ekikyasigaddewo.”

Awo abakungu ba Kabaka Keezeekiya bwe baatuuka eri Isaaya, (AE)Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa. (AF)Wuliriza! Nzija kumuteekamu omwoyo, awulire olugambo ku bikwata ku nsi ye addeyo mu nsi ye, era gye ndimuzikiririza n’ekitala.’ ”

(AG)Labusake bwe yawulira nti kabaka w’e Bwasuli avudde mu Lakisi, n’avaayo, n’asanga kabaka ng’alwana ne Libuna.

Awo Sennakeribu n’afuna obubaka obukwata ku Tiraka kabaka w’e Esiyopya nti, “Laba amaliridde okulwana naawe,” era n’addamu n’atuma ababaka eri Keezeekiya ng’agamba nti, 10 (AH)“Bwe muti bwe munagamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nti, ‘Tokkiriza Katonda wo gwe weesiga kukulimbalimba ng’akusuubiza nti Yerusaalemi teriweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’ 11 Ekyamazima wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye bakoze amawanga gonna, nga bagasaanyizaawo ddala. Olowooza nti olirokolebwa? 12 (AI)Bakatonda baamawanga ag’e Gozani, n’e Kalani, n’e Lezefu, n’abantu ba Adeni abaali mu Terasali, abasaanyizibwawo bajjajjange, babalokola? 13 (AJ)Kabaka w’e Kamasi, kabaka w’e Alupadi, kabaka w’ekibuga kya Sefavayimu, oba kabaka w’e Kena oba kabaka w’e Yiva, bali ludda wa?”

Okusaba kwa Keezeekiya

14 Keezeekiya n’afuna ebbaluwa eyaleetebwa ababaka, n’agisoma. N’ayambuka n’agenda mu yeekaalu ya Mukama, n’agyanjuluza mu maaso ga Mukama. 15 (AK)Keezeekiya n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, atuula waggulu ku bakerubi, ggwe wekka, ggwe Katonda ow’obwakabaka bwonna obw’ensi, era ggwe wakola eggulu n’ensi. 16 (AL)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire; ozibule amaaso go Ayi Mukama, olabe; owulire ebigambo bya Sennakeribu, byayogedde ng’avvoola Katonda omulamu.

17 “Kya mazima, Ayi Mukama, nti bakabaka b’e Bwasuli baazikiriza amawanga n’ensi zaabwe, 18 (AM)ne basuula bakatonda baabwe mu muliro. Naye abo tebaali Katonda, baali mirimu gy’emikono gy’abantu, nga mbaawo n’amayinja, era kyebaava bazikirizibwa. 19 (AN)Kaakano, Ayi Mukama, Katonda waffe, tukwegayiridde, otulokole mu mukono gwe, amawanga gonna ku nsi gamanye nga ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wekka.”

Isaaya Ayogera Ebyobunnabbi ku kugwa kwa Sennakeribu

20 (AO)Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’aweereza Keezeekiya obubaka nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, Mpulidde okusaba kwo ku bikwata ku Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli. 21 (AP)Kino kye kigambo Mukama ky’ayogedde ku bimukwatako:

“ ‘Omuwala wa Sayuuni embeerera akunyooma
    era akusekerera.
Omuwala wa Yerusaalemi akunyeenyeza omutwe gwe
    nga bw’odduka.
22 (AQ)Ani gw’ovumye era n’ovvoola?
    Ani gw’okandulidde eddoboozi lyo,
era ani gw’oyimusirizza amaaso go n’amalala?
    Obikoze Omutukuvu wa Isirayiri!
23 (AR)Ojereze Mukama
    ng’oyita mu babaka bo.
Era ogambye nti,
    “Nninye ku ntikko z’ensozi
n’amagaali gange amangi,
    ku ntikko ezisingirayo ddala obuwanvu eza Lebanooni.
Ntemye emivule egisingirayo ddala obuwanvu
    n’emiberosi gyayo egisingirayo ddala obulungi.
Ntuuse ne mu bifo ebisingirayo ddala okuba ebikusike
    ne mu bibira ebisingirayo ddala okuba ebirungi.
24 Nsimye enzizi mu bannamawanga,
    n’enywa amazzi gaamu.
Nkazizza emigga egy’e Misiri gyonna,
    nga ngirinnyirira n’ebisinziiro by’ebigere byange.”

25 (AS)“ ‘Tewawulira nga nakisalawo dda?
    Mu biro eby’edda nakiteekateeka,
era kaakano nkituukirizza,
    olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe
    okuba ng’entuumo y’amayinja.
26 (AT)Ababituulamu tebakyalina buyinza,
    batekemuse era baswazibbwa.
Bafaanana ng’ebimera eby’omu nnimiro,
    ng’omuddo omubisi,
ng’omuddo ogusibuse mu busolya bw’ennyumba,
    ne gutugibwa nga tegunnakula.

27 (AU)“ ‘Naye mmanyi obutuuliro bwo
    era mmanyi okufuluma kwo n’okuyingira kwo
    n’obuswandi bw’ondaga.
28 (AV)Kubanga ondaze obuswandi bwo,
    n’obujoozi bwo
ne mbuwulira mu matu gange,
    kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo
n’olukoba lwange mu mumwa gwo,
    era oliddirayo mu kkubo lye wajjiramu.’

29 (AW)“Era kano ke kanaaba akabonero ko, ggwe Keezeekiya.

“Omwaka guno olirya ekyo ekimera kyokka,
    ne mu mwaka ogwokubiri ekiriva mw’ekyo.
Naye mu mwaka ogwokusatu siga era okungule;
    era simba ennimiro ez’emizabbibu, olye ku bibala bya kwo.
30 (AX)Ekitundu ekisigaddewo eky’ennyumba ya Isirayiri
    kyekiriva kiddamu ne kisimba emizi wansi, ne kibala ebibala waggulu.
31 (AY)Mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo,
    ne mu Lusozi Sayuuni ne muva abo abaliwona.

Obuggya bwa Mukama ow’Eggye bulikituukiriza.

32 “Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama ku bikwata ku kabaka w’e Bwasuli, nti,

“ ‘Kabaka oyo taliyingira mu kibuga kino,
    wadde okulasayo akasaale.
Talikisemberera n’engabo
    newaakubadde okutuumako ekifunvu ng’akitaayiza.
33 (AZ)Ekkubo lye yakwata ng’ajja, omwo mw’aliddira,
    naye taliyingira mu kibuga kino,
    bw’ayogera Mukama.
34 (BA)Ndirwanirira ekibuga kino nkirokole,
    ku lwange, ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

35 (BB)Ekiro ekyo malayika wa Mukama n’agenda mu nkambi ey’Abasuuli n’atta abasajja emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Ku makya abantu bwe baagolokoka, laba nga bonna mirambo. 36 (BC)Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ava mu nkambi, n’addayo ewuwe, n’agenda n’abeera e Nineeve.

37 (BD)Awo bwe yali ng’asinziza mu ssabo lya katonda we Nisuloki Adulammereki ne Salezeri batabani be ne bamutta n’ekitala, ne baddukira mu nsi y’e Alalati. Esaladoni mutabani we n’amusikira.

Okulwala kwa Keezeekiya

20 Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”

Keezeekiya ne yeekyusa n’atunuulira ekisenge, ne yeegayirira Mukama ng’agamba nti, (BE)“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.

Awo Isaaya bwe yali nga tannava mu luggya olwa wakati, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nti, (BF)“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama. (BG)Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”

(BH)Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.

Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”

(BI)Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”

10 Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”

11 (BJ)Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.

Obusirusiru bwa Keezeekiya

12 Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde. 13 Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

14 Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”

15 Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?”

N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”

16 Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ky’agamba: 17 (BK)Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama. 18 (BL)“Era abamu ku bazzukulu bo, ab’omubiri gwo n’omusaayi gwo, abaliba bakuzaaliddwa balitwalibwa mu busibe, era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.”

19 Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”

20 (BM)Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda? 21 Keezeekiya n’afa, mutabani we Manase n’amusikira okuba kabaka.

Footnotes

  1. 18:17 Ekidiba eky’engulu kye kidiba ekyasimibwa Keezeekiya okuggyanga amazzi okuva oluzzi Gikoni we lutandikira.
  2. 18:31 Amakulu g’ekyo nti wajja kubaawo emirembe, n’obutebenkevu, n’enkulaakulana

Keezeekiya Atukuza Yeekaalu

29 (A)Keezeekiya yali wa myaka amakumi abiri mu etaano bwe yalya obwakabaka; n’afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.

Read full chapter

19 (A)Keezeekiya oba omuntu omulala yenna mu Yuda, yamutta? Keezeekiya teyatya Mukama n’anoonya ekisa kye? Era Mukama teyakyusa n’ataleeta kuzikirira kwe yali agambye okubaleetako? Naye tunaatera okwereetera obulabe obw’amaanyi!”

Read full chapter

Manase Kabaka wa Yuda

33 (A)Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi.

Read full chapter