Add parallel Print Page Options

Eby’abaddu ne Bakama baabwe

(A)Abo bonna abali mu kikoligo ky’obuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu n’okuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa. (B)Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olw’okuweereza kwabwe okulungi.

Omugaso gw’okussaamu Katonda Ekitiibwa

Bino bibayigirizenga era obibakuutirenga. (C)Omuntu yenna bw’ayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu n’okugobereranga enjigiriza ey’okutya Katonda, (D)aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko ky’ategeera naye aba aguddemu akazoole ak’okubuzaabuza mu buli kintu, n’okuwakana ku buli kigambo n’ekivaamu bwe buggya, n’okuyomba, n’okuvuma, n’okuwaayira, (E)n’okukaayana. Ebyo bikolebwa abantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina mazima, abalowooza ng’okufuna amagoba kwe kutya Katonda. (F)Weewaawo okutya Katonda kulimu amagoba mangi, omuntu bw’amalibwa mu ekyo ky’alina. (G)Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu. (H)Naye bwe tuba n’emmere, n’ebyokwambala ebyo bitumalenga. (I)Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira. 10 (J)Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.

Okulabula

11 (K)Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu. 12 (L)Lwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo bwe wayitirwa, n’oyatula okwatula okulungi mu maaso g’abajulirwa abangi. 13 (M)Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato, 14 okuumenga ekiragiro nga tekiriiko bbala, wadde eky’okunenyezebwa okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo, 15 (N)kw’aliraga mu ntuuko zaakwo, aweebwa omukisa era nnannyini buyinza yekka, Kabaka wa bakabaka bonna, era Mukama wa bakama, 16 (O)ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina.

Okulabula Abagagga

17 (P)Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga, 18 (Q)bakole ebirungi, babe bagagga mu bikolwa ebirungi, nga bagabi, era abaagala okugabana n’abalala. 19 (R)Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.

20 (S)Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa. Weewalenga ebigambo ebivvoola, era ebitaliimu nsa, n’empaka ez’ebigambo ebiyitibwa eby’amagezi naye nga bya bulimba, 21 (T)abantu abamu ge balowooza okuba nago, ne basubwa ekigendererwa mu kukkiriza.

Ekisa kibeerenga nammwe.

All who are under the yoke of slavery should consider their masters worthy of full respect,(A) so that God’s name and our teaching may not be slandered.(B) Those who have believing masters should not show them disrespect just because they are fellow believers.(C) Instead, they should serve them even better because their masters are dear to them as fellow believers and are devoted to the welfare[a] of their slaves.

False Teachers and the Love of Money

These are the things you are to teach and insist on.(D) If anyone teaches otherwise(E) and does not agree to the sound instruction(F) of our Lord Jesus Christ and to godly teaching, they are conceited(G) and understand nothing. They have an unhealthy interest in controversies and quarrels about words(H) that result in envy, strife, malicious talk, evil suspicions and constant friction between people of corrupt mind, who have been robbed of the truth(I) and who think that godliness is a means to financial gain.

But godliness with contentment(J) is great gain.(K) For we brought nothing into the world, and we can take nothing out of it.(L) But if we have food and clothing, we will be content with that.(M) Those who want to get rich(N) fall into temptation and a trap(O) and into many foolish and harmful desires that plunge people into ruin and destruction. 10 For the love of money(P) is a root of all kinds of evil. Some people, eager for money, have wandered from the faith(Q) and pierced themselves with many griefs.(R)

Final Charge to Timothy

11 But you, man of God,(S) flee from all this, and pursue righteousness, godliness,(T) faith, love,(U) endurance and gentleness. 12 Fight the good fight(V) of the faith. Take hold of(W) the eternal life(X) to which you were called when you made your good confession(Y) in the presence of many witnesses. 13 In the sight of God, who gives life to everything, and of Christ Jesus, who while testifying before Pontius Pilate(Z) made the good confession,(AA) I charge you(AB) 14 to keep this command without spot or blame(AC) until the appearing of our Lord Jesus Christ,(AD) 15 which God will bring about in his own time(AE)—God, the blessed(AF) and only Ruler,(AG) the King of kings and Lord of lords,(AH) 16 who alone is immortal(AI) and who lives in unapproachable light,(AJ) whom no one has seen or can see.(AK) To him be honor and might forever. Amen.(AL)

17 Command those who are rich(AM) in this present world not to be arrogant nor to put their hope in wealth,(AN) which is so uncertain, but to put their hope in God,(AO) who richly provides us with everything for our enjoyment.(AP) 18 Command them to do good, to be rich in good deeds,(AQ) and to be generous and willing to share.(AR) 19 In this way they will lay up treasure for themselves(AS) as a firm foundation for the coming age, so that they may take hold of(AT) the life that is truly life.

20 Timothy, guard what has been entrusted(AU) to your care. Turn away from godless chatter(AV) and the opposing ideas of what is falsely called knowledge, 21 which some have professed and in so doing have departed from the faith.(AW)

Grace be with you all.(AX)

Footnotes

  1. 1 Timothy 6:2 Or and benefit from the service