Add parallel Print Page Options

(A)Omuntu yenna mu mmwe bw’aba n’ensonga ne munne, agitwala eri abatali batuukirivu oba eri abatukuvu? (B)Oba temumanyi ng’abatukuvu be balisalira ensi omusango? Kale obanga mmwe mulisalira ensi omusango, temusobola kusala nsonga ntono eziri mu mmwe? Temumanyi nga ffe tulisalira bamalayika omusango, okwo nga totaddeeko bintu bya mu bulamu buno? Kale bwe muba n’ensonga lwaki muzitwala mu abo abanyoomebwa ekkanisa ne mubalonda okuba abalamuzi? (C)Njagala kubakwasa nsonyi; ddala mu mmwe temuli muntu n’omu alina magezi asobola okusala ensonga wakati w’abooluganda? (D)Naye owooluganda ayinza okuwoza n’owooluganda mu maaso g’abatali bakkiriza?

(E)N’okuwozaŋŋana mwekka na mwekka kiraga nti muli mu kabi. Lwaki obutamala gakolwanga bubi? Lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? (F)Naye musobya baganda bammwe ne mubalyazaamaanya. (G)Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga,[a] 10 newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 11 (H)Era abamu ku mmwe mwali nga bo, naye ebibi byammwe byanaazibwa era mwatukuzibwa era mwaweebwa obutuukirivu mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo n’Omwoyo wa Katonda waffe.

Ekibi eky’obwenzi

12 (I)Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu. 13 (J)Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. 14 (K)Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge. 15 (L)Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. 16 (M)Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.” 17 (N)Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.

18 (O)Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. 19 (P)Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? 20 (Q)Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Footnotes

  1. 6:9 bamalaaya abasajja n’abasajja abaalyanga ebisiyaga baali bangi mu nsi ya Buyonaani ne mu Baruumi

Lawsuits Among Believers

If any of you has a dispute with another, do you dare to take it before the ungodly for judgment instead of before the Lord’s people?(A) Or do you not know that the Lord’s people will judge the world?(B) And if you are to judge the world, are you not competent to judge trivial cases? Do you not know that we will judge angels? How much more the things of this life! Therefore, if you have disputes about such matters, do you ask for a ruling from those whose way of life is scorned in the church? I say this to shame you.(C) Is it possible that there is nobody among you wise enough to judge a dispute between believers?(D) But instead, one brother(E) takes another to court—and this in front of unbelievers!(F)

The very fact that you have lawsuits among you means you have been completely defeated already. Why not rather be wronged? Why not rather be cheated?(G) Instead, you yourselves cheat and do wrong, and you do this to your brothers and sisters.(H) Or do you not know that wrongdoers will not inherit the kingdom of God?(I) Do not be deceived:(J) Neither the sexually immoral nor idolaters nor adulterers(K) nor men who have sex with men[a](L) 10 nor thieves nor the greedy nor drunkards nor slanderers nor swindlers(M) will inherit the kingdom of God. 11 And that is what some of you were.(N) But you were washed,(O) you were sanctified,(P) you were justified(Q) in the name of the Lord Jesus Christ and by the Spirit of our God.

Sexual Immorality

12 “I have the right to do anything,” you say—but not everything is beneficial.(R) “I have the right to do anything”—but I will not be mastered by anything. 13 You say, “Food for the stomach and the stomach for food, and God will destroy them both.”(S) The body, however, is not meant for sexual immorality but for the Lord,(T) and the Lord for the body. 14 By his power God raised the Lord from the dead,(U) and he will raise us also.(V) 15 Do you not know that your bodies are members of Christ himself?(W) Shall I then take the members of Christ and unite them with a prostitute? Never! 16 Do you not know that he who unites himself with a prostitute is one with her in body? For it is said, “The two will become one flesh.”[b](X) 17 But whoever is united with the Lord is one with him in spirit.[c](Y)

18 Flee from sexual immorality.(Z) All other sins a person commits are outside the body, but whoever sins sexually, sins against their own body.(AA) 19 Do you not know that your bodies are temples(AB) of the Holy Spirit, who is in you, whom you have received from God? You are not your own;(AC) 20 you were bought at a price.(AD) Therefore honor God with your bodies.(AE)

Footnotes

  1. 1 Corinthians 6:9 The words men who have sex with men translate two Greek words that refer to the passive and active participants in homosexual acts.
  2. 1 Corinthians 6:16 Gen. 2:24
  3. 1 Corinthians 6:17 Or in the Spirit