Add parallel Print Page Options

21 (A)bonna babeere bumu, nga ggwe Kitange bw’oli mu Nze, nange nga ndi mu ggwe, nabo babeerenga mu ffe, ensi eryoke ekkirize nga ggwe wantuma. 22 (B)Mbawadde ekitiibwa kye wampa, balyoke babeere bumu nga ffe bwe tuli obumu. 23 (C)Nze nga ndi mu bo, era naawe ng’oli mu Nze balyoke bafuukire ddala omuntu omu. Ensi eryoke etegeere nga ggwe wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”

Read full chapter

20 (A)kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange.

Read full chapter