Ekyamateeka Olwokubiri 28:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Mukama anaakulekeranga abalabe bo ne bakuwangulanga. Onoobalumbiranga mu kkubo limu, kyokka n’obadduka ng’obunye emiwabo mu makubo musanvu. Olifuuka kyakikangabwa mu maaso g’amawanga gonna ag’oku nsi.
Read full chapter
2 Ebyomumirembe 24:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ne baleka yeekaalu ya Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n’ebifaananyi, obusungu bwa Katonda kyebwava bubuubuukira ku Yuda ne Yerusaalemi.
Read full chapter
Yeremiya 18:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ensi yaabwe ya kusigala matongo,
ekintu eky’okusekererwa emirembe gyonna,
abo bonna abayise balyewuunya
era ne banyeenya emitwe gyabwe.
Yeremiya 19:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Ndidibaga ekibuga kino ne nkifuula eky’okusekererwa, n’abo bonna abayitawo bennyamire era baseke olw’ebiwundu byakyo byonna.
Read full chapter
Yeremiya 25:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.
Read full chapter
Yeremiya 25:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda, ne bakabaka baabyo n’abakungu basaanewo era bafuuke ekintu eky’entiisa n’okuzikirira, n’okusekererwa n’ekikolimo nga bwe bali kaakano.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.