Add parallel Print Page Options

(A)“Gamba abantu bonna abali mu nsi, ne bakabona nti, ‘Bwe mwasiiba ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw’omusanvu mu myaka gino ensanvu, mwali musiibira nze? Era bwe mulya ne munywa, muba temulya ku lwammwe era n’okunywa ku lwammwe?

Read full chapter

Ekibi kya Bakabona

(A)“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n’omuddu atya mukama we. Kale obanga ddala ndi kitammwe, ekitiibwa kye munzisaamu kiri ludda wa? Era obanga ndi mukama wammwe, lwaki temuntya?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Mukama ow’Eggye bw’abagamba mmwe nti, “Mmwe bakabona munyooma erinnya lyange.

“Ne mubuuza nti, ‘Twayonoona tutya?’ 

(B)“Muwaayo ku kyoto kyange emmere eyonoonese.

“Kyokka ne mwebuuza nti, ‘Twakwonoona tutya?’ 

“Kubanga olujjuliro lwange mulufuula ekitagasa. (C)Bwe muwaayo ensolo enzibe z’amaaso okuba ssaddaaka, muba temukoze kibi? Ate bwe muwaayo eziwenyera oba endwadde, ekyo si kibi? Kale nno mugezeeko okuzitonera omufuzi wammwe, anaabasanyukira? Ye anaafaayo okukutunulako?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

25 (A)“Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu
    emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?

Read full chapter

22 (A)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka.

Read full chapter

35 (A)Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu.

Read full chapter

Etteeka ery’Ekiweebwayo eky’Empeke

(A)“ ‘Omuntu yenna bw’anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke; empeke anaamalanga kuzisa, n’aleeta obuwunga obulungi. Anaabufukangako amafuta ag’omuzeeyituuni, n’ateekako n’obubaane,

Read full chapter