Add parallel Print Page Options

12 (A)Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.

Read full chapter

13 (A)Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.

Read full chapter

Yeremiya n’agamba nti, “Ekigambo kya Mukama kyanzijira: (A)Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’ 

“Awo nga Mukama bwe yali agambye, omwana wa kojja wange Kanameri yajja mu luggya lw’omukuumi gye nnali n’aŋŋamba nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi mu kitundu kya Benyamini, kubanga okirinako obuyinza n’obuvunaanyizibwa okukinunulayo n’okyefunira, kyegulire.’

“Olwo ne mmanya nti kino kye kigambo kya Mukama. (B)Ne ndyoka ngula ennimiro ey’e Anasosi ku Kanameri omwana wa kojjange, ne mubalira ensimbi, ebitundu kkumi na musanvu ebya ffeeza.

Read full chapter