Zabbuli 7:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.
Ekyamateeka Olwokubiri 21:22-23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amateeka Agatali Gamu
22 (A)Omuntu bw’anaasingibwanga ogw’okufa n’attibwa, n’awanikibwa ku muti, 23 (B)omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.
Read full chapter
Eseza 7:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Awo ne bawanika Kamani ku kalabba ke yali azimbidde Moluddekaayi, olwo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.