Zabbuli 138:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
ne ntendereza erinnya lyo
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Zabbuli 140:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
Zabbuli 5:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.