Add parallel Print Page Options

12 (A)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
    ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.

Read full chapter

(A)Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma

olusozi okuli ennyumba ya Mukama Katonda
    lulinywezebwa lusinge ensozi zonna okugulumira,
luliyimusibwa lusukke ku ndala zonna,
    era amawanga gonna galilwolekera.

Read full chapter

(A)Ebinyonyi byonna eby’omu bbanga
    ne bizimba ebisu byazo mu matabi gaagwo amanene,
n’ensolo enkambwe ez’oku ttale
    ne zizaaliranga wansi w’amatabi gaagwo,
n’amawanga gonna amakulu
    ne gabeeranga wansi w’ekisiikirize kyagwo.

Read full chapter

12 (A)Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.

Read full chapter

(A)Ndifaanana ng’omusulo eri Isirayiri:
    alimulisa ng’eddanga,
era alisimba emirandira ng’emivule gy’e Lebanooni.
    (B)Amatabi ge amato galikula;
n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni,
    n’akaloosa ke kaliba ng’akaloosa k’omuvule gw’e Lebanooni.
(C)Abantu balibeera nate wansi w’ekisiikirize kye,
    era alibala ng’emmere ey’empeke.
Alimulisa ng’omuzabbibu,
    era alyatiikirira nga wayini ow’e Lebanooni.

Read full chapter

32 (A)Kaladaali kaweke katono nnyo okusinga ensigo endala zonna. Naye bwe kasimbibwa ne kakula kavaamu omuti omunene ennyo, n’ennyonyi ez’omu bbanga ne zijja ne zibeera ku matabi gaagwo.”

Read full chapter