Add parallel Print Page Options

23 (A)Amaaso gaabwe gazibe baleme okulaba,
    n’emigongo gyabwe gyewetenga ennaku zonna.

Read full chapter

(A)Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti,

“ ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
    n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10 (B)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
    oggale amatu gaabwe,
    n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
    oba okuwulira n’amatu gaabwe
    oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”

Read full chapter

(A)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,
    n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,
    n’amatu gaabwe obutawulira
okutuusa leero.”

Read full chapter

(A)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
    n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
    n’obudde bubazibirire.

Read full chapter

(A)(Edda mu Isirayiri, omuntu bwe yagendanga okwebuuza ku Katonda, yayogeranga nti, “Jjangu tugende ew’omulabi;” kubanga ayitibwa nnabbi mu nnaku zino, edda ye yayitibwanga omulabi).

Read full chapter