Add parallel Print Page Options

31 (A)Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

Read full chapter

(A)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”

Read full chapter

10 (A)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
    abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
    balindeetera ssaddaaka.

Read full chapter

(A)Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,
    Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”
so n’omulaawe okugamba nti,
    “Ndi muti mukalu.”

Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
    ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
    ne bakuuma endagaano yange,
(B)amannya gaabwe galijjukirwa
    mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizo
    n’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.
Ndibawa erinnya eritaliggwaawo
    ery’emirembe n’emirembe.

Read full chapter

41 “Ebikwata ku munnaggwanga atali wa mu bantu bo Isirayiri, naye ng’avudde mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo, 42 (A)kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno; 43 (B)owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.

Read full chapter

Abayonaani Baagala Okulaba Yesu

20 (A)Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako

Read full chapter