Add parallel Print Page Options

10 (A)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.

Read full chapter

24 (A)Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,
    naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.

Read full chapter

19 (A)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.

Read full chapter

omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

Read full chapter

(A)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
    okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
    ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.

Read full chapter

(A)Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe.

Read full chapter

11 (A)Ate nalaba nga wansi w’enjuba,

ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,
    era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,
ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;
    wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo
    aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.

12 (B)Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.

Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
    oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
    ebibatuukako nga tebabyetegekedde.

Read full chapter