Zabbuli 33:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
Zabbuli 33:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
Zabbuli 148:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
Abaebbulaniya 11:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika.
Read full chapter
2 Abakkolinso 4:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.