Add parallel Print Page Options

(A)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
    naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.

Read full chapter

Zibasanze abo Abeesiga Misiri

31 (A)Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
    abeesiga embalaasi,
abeesiga amagaali gaabwe amangi,
    abeesiga amaanyi amangi ag’abeebagala embalaasi
ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri
    wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.

Read full chapter

(A)Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.”

Read full chapter

(A)Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Read full chapter

(A)“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe. (B)Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.

Read full chapter