Add parallel Print Page Options

(A)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Read full chapter

(A)Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,
    naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.

Read full chapter

(A)Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,
    naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.

Read full chapter

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

24 (A)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”

Read full chapter