Add parallel Print Page Options

(A)Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,
    yeesiimye oyo alikusasula ebyo
    nga naawe bye watukola.

Read full chapter

15 (A)Mumukube olube ku buli ludda.
    Ajeemulukuse, eminaala gye gigwa,
    n’ebisenge bye bimenyeddwa.
Kubanga kuno kwe kwesasuza kwa Mukama Katonda,
    mumwesasuzeeko;
    mumukole nga bw’akoze abalala.

Read full chapter

29 (A)“Koowoola abalasi b’obusaale balumbe Babulooni,
    ne bonna abanaanuula omutego.
Mumwetooloole yenna;
    tewaba n’omu awona.
Mumusasule olw’ebikolwa bye byonna;
    mumukole nga bwe yakola banne.
Kubanga yanyooma Mukama,
    Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

10 (A)oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.

Read full chapter

19 (A)Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda.

Read full chapter