Add parallel Print Page Options

(A)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
    n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
    ne nnwanirira abo abalumbibwa.”

Read full chapter

Amaziga g’Abanyigirizibwa

(A)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
    era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
    kyokka nga tewali asobola kubagambako.

Read full chapter