Add parallel Print Page Options

22 (A)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

Read full chapter

14 (A)Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
    aliba ejjinja era olwazi kwe bagwa,
era alibeera omutego era ekyambika eri ab’omu Yerusaalemi.
15 (B)Era bangi abaliryesittalako,
    bagwe, bamenyeke,
    bategebwe bakwatibwe.”

Read full chapter

42 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino kyava eri Mukama
    era kya kyewuunyo.’

Read full chapter

11 (A)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’

Read full chapter

20 (A)Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.

Read full chapter

33 (A)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
    n’olwazi olulibasuula.
    Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 9:33 Ejjinja eryesittalwako ye Kristo.

11 (A)Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.”

Read full chapter

(A)Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni,
    ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,
oyo eyeesiga Kristo,
    taliswazibwa.”

Read full chapter