Add parallel Print Page Options

16 (A)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.

Read full chapter

16 (A)Bwe ndirasa obusaale obutta era obuzikiriza obw’ekyeya ndirasa okubazikiriza. Ndyongera okuleeta ekyeya, ne nsalako n’emmere ebaweebwa.

Read full chapter

10 Opime gulaamu ebikumi bibiri mu amakumi asatu ez’emmere gy’olirya buli lunaku, era gy’oliriira mu biseera ebigere. 11 Ate opime nga kitundu kya lita ey’amazzi, oganywe mu biseera ebigere.

Read full chapter

26 (A)Bwe ndikendeeza ku bungi bw’emmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga.

Read full chapter

Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango

(A)Laba kaakano, Mukama,
    Mukama Katonda ow’Eggye,
aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda
    ekibeesiguza ne kwe banyweredde,
ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.

Read full chapter

19 (A)Tegeeza abantu ab’omu nsi nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku abo ababeera mu Yerusaalemi ne mu nsi ya Isirayiri nti, Balirya emmere yaabwe nga beeraliikirira, banywe n’amazzi gaabwe nga batya, kubanga ensi yaabwe erinyagibwa mu buli kintu ekirimu, olw’obukambwe bw’abo bonna ababeera eyo.

Read full chapter