Zabbuli 1:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
Zabbuli 37:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
Isaaya 17:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi,
Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo.
Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo;
era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
Isaaya 2:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Abantu bangi balijja bagambe nti,
Mujje twambuke tulinnye ku lusozi lwa Mukama,
mu nnyumba ya Katonda wa Yakobo,
alyoke atuyigirize amakubo ge,
tulyoke tutambulire mu mateeka ge.
Kubanga Mukama aliteeka amateeka ng’asinziira mu Sayuuni,
era mu Yerusaalemi abayigirize ekigambo kye.
Mikka 4:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obufuzi bwa Mukama eri Amawanga Gonna
4 (A)Mu nnaku ez’oluvannyuma
olusozi lw’ennyumba ya Mukama luligulumizibwa
okusinga ensozi zonna;
lulisitulibwa waggulu okusukkuluma ku busozi,
era abantu balisimba ennyiriri nga balaga gye luli.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.