Add parallel Print Page Options

Mukama Afuka Omwoyo We ku Bantu Be

28 (A)“Awo olulituuka oluvannyuma lw’ebyo,
    ndifuka Omwoyo wange ku bantu bonna.
Batabani bammwe ne bawala bammwe balitegeeza eby’omu maaso;
    abakadde baliroota ebirooto,
    n’abavubuka bammwe balyolesebwa.
29 (B)Mu biro ebyo
    ndifuka Omwoyo wange ku baweereza bange abasajja n’abakazi.

Read full chapter

27 (A)Era ndibawa Omwoyo wange alibakubiriza okugoberera ebiragiro byange n’okukuuma obulungi amateeka gange. 28 (B)Mulibeera mu nsi gye nawa bajjajjammwe, nammwe mulibeera bantu bange, nange ne mbeera Katonda wammwe.

Read full chapter

36 (A)Olwo n’amawanga agaasigalawo agabeetoolodde galimanya nga nze Mukama, naddaabiriza ebyayonoonebwa, n’ennimiro n’ebyali bizise. Nze Mukama nkyogedde, era ndikituukiriza.’

Read full chapter