Add parallel Print Page Options

(A)Era kaakano Mukama Katonda wammwe awadde baganda bammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo muddeeyo mu maka gammwe mu nsi Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa ku luuyi luli olulala olwa Yoludaani.

Read full chapter

18 (A)Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani. 19 Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi, 20 okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”

Read full chapter