Add parallel Print Page Options

Ensi ya Zebbulooni

10 (A)Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.

Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi. 11 (B)Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu. 12 Okuva ebuvanjuba wa Salidi ne yeeyongerayo enjuba gy’eva ng’egendera ku nsalo y’e Kisulosutaboli, ne Daberasi, ne yeebalama Yafiya. 13 (C)Okuva eyo n’edda ebuvanjuba e Gasukeferi, okudda e Esukazini; ne yeeyongerayo e Limmoni, n’edda ku luuyi oluliko Nea. 14 Ne yeebungulula mu bukiikakkono n’etuuka ku Kannasoni n’ekoma mu Kiwonvu kya Ifutakeri; 15 (D)ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu[a], ebibuga kkumi na bibiri, n’ebyalo byabyo.

16 (E)Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Zebbulooni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n’ebyalo byabyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 19:15 Besirekemu Ekyogerwako wano si kyekimu ne Besirekemu ekya Yuda (1Sa 17:12; Lus 1:1)