Add parallel Print Page Options

Omugabo gw’abaana ba Efulayimu

(A)Ettaka ly’abaana ba Efulayimu ng’enju zaabwe bwe zaali eno gye lyayitanga;

ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Atalosuaddali n’okutuuka ku Besukolooni ey’Ekyengulu, (B)ne yeeyongera ku nnyanja ne ku Mikumesasi mu bukiikakkono ne yeetooloola ku luuyi olw’ebuvanjuba ku Taanasi Siiro, n’olwebuvanjuba olw’e Yanoa, (C)n’ekka ku Atalosi ne ku Naala n’ekwata ku Yeriko n’etuuka ku Yoludaani. (D)N’eva ku Tappua n’eyita ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka ku mugga Kana n’ekoma ku nnyanja. Bino bye bitundu ekika ky’abaana ba Efulayimu bye baagabana ng’enju zaabwe bwe zaali.

Ku bino kwaliko ebibuga n’ebyalo byakwo byonna ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu abaali mu kitundu kya Manase ebibuga byonna n’ebyalo byabwe.

Read full chapter

(A)N’ensalo ya Manase yava ku Aseri n’etuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, n’eyita ku bukiikaddyo n’ekka n’etwaliramu abantu abaali mu Entappua. (B)Ensi ya Tappua Manase n’agitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana. (C)Ensalo n’ekka n’etuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obw’omugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga n’ekoma ku nnyanja. 10 (D)Efulayimu n’atwala oluuyi olw’omu bukiikaddyo ne Manase n’atwala oluuyi olw’omu bukiikakkono n’ensalo ye n’ekoma ku nnyanja mu bukiikakkono n’etuuka ku Aseri ate ebuvanjuba n’etuuka ku Isakaali.

Read full chapter

17 Yoswa n’ayogera eri ennyumba ya Yusufu, n’eya Efulayimu n’eya Manase nti, “Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka,

Read full chapter