Yokaana 17:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Asabira Abayigirizwa be
6 (A)“Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo.
Read full chapter
Yokaana 17:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mbasabira. Sisabira nsi, naye nsabira abo be wampa kubanga babo.
Read full chapter
Yokaana 17:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
Read full chapter
Danyeri 7:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.
Read full chapter
Yokaana 6:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru.
Read full chapter
Yokaana 6:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.