Yokaana 8:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma.
Read full chapter
Yokaana 16:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Laba, ekiseera kijja, era kituuse mwenna lwe munaasaasaana buli omu n’addayo ku bibye, ne mundeka nzekka. Kyokka sijja kuba nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
Read full chapter
Yokaana 4:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Yesu n’abaddamu nti, “Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.
Read full chapter
Yokaana 5:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala.
Read full chapter
Yokaana 6:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.