Add parallel Print Page Options

(A)Ekibiina ky’abantu kinene ne bamugoberera, kubanga baalaba ebyamagero bye yakola ng’awonya abalwadde.

Read full chapter

15 (A)Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.

Yesu Atambulira ku Mazzi

16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 (B)Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 (C)Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.

Read full chapter