Yobu 7:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
era zikoma awatali ssuubi.
Zabbuli 23:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
Engero 14:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa,
naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.
Yobu 27:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Sirikkiriza nti muli batuufu;
okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.