Add parallel Print Page Options

(A)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
    bwe yava mu lubuto lwayo?

“Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
    ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 (B)bwe n’abiteekerawo we bikoma
    ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 (C)bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
    era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?

Read full chapter

(A)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(B)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(C)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

Read full chapter

29 (A)bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
    amazzi galeme kusukka we yagalagira,
    ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.

Read full chapter

22 (A)Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
    “temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
    olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
    gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.

Read full chapter

(A)Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi.

Read full chapter