Add parallel Print Page Options

24 (A)“Obanga nateeka obweyamo bwange mu zaabu
    oba ne ŋŋamba zaabu ennongoose nti, ‘Ggwe bwesige bwange;’
25 (B)obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
    oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
26 (C)obanga nnali ntunuulidde enjuba,
    oba omwezi nga byaka mu kitiibwa,
27 omutima gwange ne gusendebwasendebwa mu kyama,
    ne mbinywegera nga mbisaamu ekitiibwa,
28 (D)era n’ekyo kyandibadde kibi ekiŋŋwanyiza okusalirwa omusango
    olw’obutaba mwesigwa eri Katonda ali waggulu.”

Read full chapter

(A)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.

Read full chapter

(A)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

Read full chapter

25 (A)Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y’empiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”

Read full chapter

Okulabula Abagagga

17 (A)Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga,

Read full chapter

(A)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

Read full chapter

12 (A)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
    ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (B)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
    Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (C)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
    baliba balamu era abagimu,

Read full chapter

(A)Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi,
    ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga,
nga wadde omusana gujja, tegutya
    n’amakoola gaagwo tegawotoka,
so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya
    era teguliremwa kubala bibala.

Read full chapter