Add parallel Print Page Options

24 (A)Bw’alidduka ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
    akasaale ak’ekikomo kalimufumita.

Read full chapter

17 (A)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu b’ensi.
18 (B)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
    aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
    alikwatibwa mu mutego.

Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
    N’emisingi gy’ensi gikankana.

Read full chapter

(A)Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’

“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’

(B)“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza.

Read full chapter

44 (A)“Buli alidduka entiisa
    aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
    alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
    omwaka gw’okubonaabona kwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter