Add parallel Print Page Options

(A)Woowe singa mbadde n’ekisulo
    ky’abatambuze mu ddungu,
nnandivudde ku bantu bange
    ne mbaleka
kubanga bonna benzi,
    bibiina by’abasajja ab’enkwe.

(B)“Bategeka olulimi lwabwe
    ng’omutego ogunasula obulimba;
bakulaakulanye mu ggwanga
    naye nga tebayimiridde ku mazima,
kubanga bakola ekibi kino ate ne bongera ekirala;
    era tebammanyi,”
    bw’ayogera Mukama.
(C)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
(D)Mubeera wakati mu bulimba;
    mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

10 (A)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (B)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (C)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera.

Read full chapter

37 (A)kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo.

Read full chapter

(A)“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,
    “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.
Ensi zonna ziriraba obwereere bwo
    n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
(B)Ndikukanyugira kazambi,
    era ndikufuula ekyenyinyalwa
    ne nkufuula eky’okwelolera.

Read full chapter