Add parallel Print Page Options

25 (A)Okuva mu biseera bajjajjammwe bye baaviiramu e Misiri okutuusa kaakano, mbadde mpeereza abaddu bange bannabbi emirundi n’emirundi.

Read full chapter

(A)Oboolyawo banaawulira, buli muntu n’akyuka okuva mu makubo ge amabi. Olwo nnejjuse nneme kubaleetako kikangabwa kyembadde ntegeka olw’okwonoona kwabwe.

Read full chapter

16 (A)Munaabe, mwetukuze
    muggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,
    mulekeraawo okukola ebibi.
17 (B)Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,
    mudduukirirenga abajoogebwa,
musalenga omusango gw’atalina kitaawe,
    muwolerezenga bannamwandu.

Read full chapter

(A)“Bw’oba odda, ggwe Isirayiri,” bw’ayogera Mukama,
    “eri nze gy’olina okudda.
Bw’oneggyako eby’omuzizo byonna
    n’otosagaasagana,

Read full chapter

11 (A)“Noolwekyo gamba abantu ba Yuda n’abo ababeera mu Yerusaalemi nti, ‘Kino Mukama ky’ayogera nti, Laba ntekateeka okubatuusaako ekikangabwa era nteesezza okubakola akabi. Kale muve mu makubo gammwe amabi, buli omu ku mmwe, mukyuse enneeyisa yammwe n’ebikolwa byammwe.’

Read full chapter

30 (A)“Kyendiva mbasalira omusango, mmwe ennyumba ya Isirayiri, buli muntu ng’ebikolwa byammwe bwe biri, bw’ayogera Mukama. Mwenenye, muleke ebikolwa ebitali bya butuukirivu, oba nga ssi weewaawo ebibi byammwe biribaleetera okuzikirira.

Read full chapter

Babagamba nti, “Mukyuke kaakano, buli omu ku mmwe okuva mu bikolwa bye ebibi, mulyoke musigale mu nsi Mukama gye yabawa mmwe ne bakitammwe emirembe gyonna.

Read full chapter

26 (A)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.

Read full chapter