Add parallel Print Page Options

20 (A)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
    Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
    n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”

Read full chapter

13 (A)Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
    ne balya ennyama yaabyo,
    Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
    Baliddayo e Misiri.

Read full chapter

13 (A)Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?”

Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”

14 (B)Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter