Add parallel Print Page Options

26 (A)“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
    abagalamira ne balindirira ng’abasajja abatezi b’obunyonyi.
    Batega abantu omutego.
27 (B)Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
    enju zaabwe bwe zijjudde eby’enkwe.
Noolwekyo bafuuse ab’amaanyi abagagga,
    ne bagejja era ne banyirira.
28 (C)Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
    abatawolereza bataliiko ba kitaabwe okubayamba basinge emisango,
    era abatafaayo ku ddembe lya bakateeyamba.

Read full chapter

(A)Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
    omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
    n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
    nga basala enkwe.

Read full chapter

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter